Ogw’okuwaayiriza omusumba Kayanja, kkooti eyisizza kibakuntumye eri Tumwine, omu ku bavunaanibwa
Kkooti ya Mwanga 2 efulumizza ekibaluwa kibakuntumye eri Moses Tumwine omu ku bavubuka abavunaanibwa okusaalimbira ku kkanisa y’omusumba Robert Kayanja nga bagamba nti yabakozesa mu mukwano ogwebikukujju .Ekiragiro kino kiddiridde okusaba kw’omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya oluvannyuma lwa Tumwine ono okwebalama entuula za kkooti eno ekikandaalirizza omusango .Tumwinene banne munaana bwe bavunaanibwa baakutandika okwewozaako oluvannyuma lwa kkooti okukakasa nti omusango ogubavunaanibwa gulimu ensa