Okubanja ebitongole bya gavumenti, NWSC eddukidde mu palamenti egiyambe
Ababaka palamenti bagala gavumenti eteekewo ssente ezigenda okusasula ekitongole ky’amazzi ki National Water and Sewerage Corporation obuwumbi obusuka mu 97 ezibanjibwa ebitongole bya gavumenti ebyenjawulo, ababaka bagamba nti ebbanja lino lizingamiza emirimu egirina okukolebwa ekitole ky’amazzi nga okjwongera okubunyisa amazzi muggwanga lyonna. Bino bibadde mu kakiiko akagatte okuli ak’ebyensimbi n’ak’obugagga obwensibo, oluvanyuma lw’ekitongole ky’amazzi okuddukira mu palamenti nga kyemulugunya nga ebitongole bya gavumenti bwebigenda okukisasula ssente z’amazzi okumala ebbanga ly’amyaka.