Okugema kawaali w’enkima kutandika mu 2025
Omwaka ogujja Uganda esuubirwa okutandika okugema ekirwadde ki MPOX ng'omu ku kaweefube w'okulinnya ekirwadde kino ku nfeete, Jjukira nti Uganda y'emu ku mawanga ga Africa agali ku lukalala olugenda okufuna ku ddoozi emitwalo kyenda ez'okugema ekirwadde kino okuyita mu kitongole ki Africa Center For Disease Control Okugema kwakutandikira ku baana abaweza emyaka 12 n'okugenda waggulu era ng'essira lyakussibwa ku bantu abali mu katyabaga k'okufuna ekirwadde kino .