Okugoba obwavu mu basiramu be Yumbe, gavumenti ebatwalidde “Islamic banking”
Abantu mu district y’e Yumbe bafunye ku kamwenyumwenyu oluvanyuma lw’ekitongole kya Micro finance Support Centre okubanjulira enteekateeka y’eby’ensimbi ey’ekiyisiraamu oba Islamic Financing mwebagenda okuyitira okufuna ensimbi ez’okwekulakulanya.kyoka wadde enteekateeka y’emyooga baangi baagyaniriza era bagiganyuddwamu, e Yumbe olw’okuba abasiinga basiraamu tebagyaniriza kubanga ekontana n’amateeka g’ekiyisiraamu olw’okusaba amagoba. Okunogera ekizibu kino eddagala, aba Micro finance Support Centre babateereddemu omuwaatwa ogw'okwewolera wansi w'amataeka ag'ekisiramu.