Okugobaganya abantu ku ttaka :Ab’e Mawokota batabukidde minisitule y’ebyettaka
Olwaleero abatuuze b’e Mawokota mu Gombolola ye Kamengo nga bakulembeddwamu omubaka wabwe mu Hillary Kiyaga oba Dr Hildaman bakedde ku kitebe kya wofiisi ya ministry ekola ku nsonga z’ettaka okuwuliriza okusalawo kwa ministry ku kwemulugunya kwabwe eri abantu abamu ababagobaganya ku ttaka eririko ebyalo 12.Abatuuze bano bavudde mu mbeera minisitule bwegobye ensonga zabwe nebajuliza kkooti nebatandika n'okulowooza nti wandibaawo ekkobaane.