Okukuuma obutonde; okusimba emiti egyokutunda kuliko engeri gye kuyambye
Ng'abantu ebeeyuna ebibuga bwe beeyongera buli kadde, obwetaavu bw'enku n'ebibajje nabwo buzze bweyongera mwaka ku mwaka.Kyokka kino kibadde tekikwatagana na ntekateeka ya kukuuma bibira, naddala ey'okulaba nga ku buli muti ogutemebwa , waliwo ogusimbibwa.Mu mboozi zaffe ez'ebibira tukuleetedde engeri bizinesi y'okusimba emiti egy'okutunda bweyambye abalimi okwegobako obwavu, kko n'okukuuma obutonde bwensi.