Okukwatira NUP bendera, abeegwanyiza ebifo batandise okuggyayo empapula
Bannakibiina ki National Unity Platform abaagala okuvuganya ku bifo eby’enjawulo olwaleero batandise okuzzaayo empapula zaabwe okulaga nti begwanyiza okukwatira ekibiina bendera n’okwetaba mu kalulu ka 2026 akaabona.Akakiiko akaddukanya okulonda mu kibiina kagamba ku mutendera guno buli kimu kya bwereere, nga kino bakikoze okusobozesa abantu ku mitendera gyonna abalina obusobozi okuvuganya ku kifo kye baagala owatali kusibira muntu yenna bweru.Kaweefube ono asuubirwa okukomekkerezebwa nga 23 omwezi guno.