OKUKYUSA MU TTEEKA LYA UPDF: Ebbago lyanjuddwa mu palamenti
Olwaleero minisitule y’ebyokwerinda etaddeyo mu palamenti ebbago ly’ennongoosereza mu tteeka lya UPDF erigendereddwamu okuzzaayo abantu baabulijjo okuvunaanibwa mu kkooti y’amagye. Ebbago lino liweereddwa obudde butono ddala okuba nga limaliriziddwa okukolebwako era nga lisindikiddwa mu bukiiko ak’eby’amateeka n’akebyokwerinda.
Kyokka ababaka abawakanya eky’okuvunaanira abantu baababulijjo mu kkooti z’amagye bakukkulumye nga bagamba nti etteeka lino ligendereddwamu okusirisa bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya, nga babadde baagala basooke kwebuuza ku bannansi okuzuula oba nga balyetaaga.