Okulonda mu Uganda - Biibino ebyafaayo by’akwo mu mwaka 63
Bannayuganda bonna abatuuse emyaka egyironda basuubirwa okwetaba mu kulonda abakulembeze baabwe mu January w’omwaka ogugya nga 12, 2026 - okusalawo ku bakulembeze baabwe abanaabafuga okumala emyaka etaano egijja wakati wa 2026 - 2031. Kyoka kuno ssi kwekugenda okuba okulonda okukyasoose mu ggwanga uganda elyaafuna obwetwaze mu mwaka 1962. Nga tutandika emboozi zaffe ezinaabugiriza okulonda kwa 2026 - katuddeko e mabega tulabe ebyafaayo by’okulonda gyekwatandikira mu Uganda.