Okulwanyisa enguzi mu ggwanga: Bannakyewa bawagidde abavubuka
Abatunuulizi b'ensonga bagamba nti engeri gavumenti gyeyakuttemu abavubuka abaabadde bavaayo okwekalakaasa nga bawakanya enguzi mu palamenti eragira ddala nti okulwanyisa enguzi kulinga okuli mu bigambo naye nga mubikolwa kirala. Bano balowooza nti kyandibadde kirungi gavumenti okuvaayo n'ekola ku nsonga eziruma abantu nga bano abaagala okwekalakaasa na ddala ku nsonga z'enguzi.