OKWETEGEKERA OKULONDA KWA 2026:Poliisi yaakuleeta abataputa olulimi lw’obubonero
Akakiiko akaleera obwenkanya ka Equal Opportunity Commission kasabye police okuteekawo abatapusi bobubonero mu buli kifo webalondera kwossa nokuwa omwagaana abantu abazze okuyambako bannabwe abateesobola ,wakati nga eggwanga lyetegekera akalulu kaabonna aka 2026.
Safia Nalule Jjuuko, Akulira akakiiko kano ategeezezza nti abantu abaliko obulemu bazze beemulugunya nti abakuuma ddembe babalemesa okulonda nga bakozesa abantu baabwe bebaba bazze nabo okubayambako, ekiviirako bantu obutalonda, nga nabalala bakakibwa okulonda bebataagala.