Okwetegekera olw’abajulizi, waliwo abalamazi abajja nga ffamire
Okulamaga e Namugongo ennaku zino kuzze kujjumbirwa abantu abaabuli kika , okuviira ddala ku baana abato okutuuka ku bakadde. Kyoka kizuuse nga abantu abava mu nju emu bajjumbidde nnyo okulamagira naddala nga batambuza e bigere. Kati leero Dorothy Najitta aganda kutulaga abaana abazze balama ne banyaabwe,kyoka nga buli omu alina ensonga enkulu emuli ku mutima gyazze okuloopa eri abajjulizi bamuwolereze.