Olutalo lw’amenunula:Lubwama agamba amaze emyaka 40 ng’abanja gav’t
Mu disitulikiti ye Mubende waliwo omutuuze agamba nti amaze emyaka egisoba mu 40 ng’abanja enteeze 80 ezaaliibwa mu lutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza mu mwaka 1986 kyoka nga nakati tanafuna amuwuliriza. Muzeeyi Merigerido Lubwama omutuuze w’e Kasambya aludde nga ensonga eno agitegeeza ab’obuyinza, kyoka mpaawo amuyamba. Atubuulidde nti kati alinze mukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ng’agenze e Mubende sabiiti eno okukuza ameefuga ga uganda amutegeeze ensonga zino.