Waliwo ekkolero ly’obuveera eriggaddwa e Kasangati lwa kwonoona butonde
Waliwo ekkolero erikola obuveera erigaddwa e Kasangati mu disitulikiti ye Wakiso olw’obutavaayo ku butonde nga likola emirimu gyalyo. Lino liggaddwa aba minisitule y’amazza n’obutonde ababadde n’Omuwabuzi wa Pulezidenti ku by’obutonde n’obuyonjo olwaleero. Mu kitundu kyekimu bano baliko ekkolero eddala lye bawadde ennaku bbiri zokka okwetereeza.