OKULONDOOLA PDM:Museveni atandise okulambula ebitundu bya Busoga
Pulezidenti Yoweri Musevein atandise okulambula ebitundu bya Busogo mu kaweefube gwaliko okulondoola enkola ya PDM, n'okuzuula oba ngabatuuze baganyuddwa.Museven okulambula akutandikidde mu disitulikiti ye Namutumba gyalambulidde abalimi abenjawulo abaganyuddwa mu nkola ya PDM.Abamu ku bakulembeze mu bitundu bye Busoga bagamba ensonga y'okwongera omutindo ku birime oba ebifulumizibwa erinna okussibwako essira.