Omubaka Yusuf Mutembuli :Bannamatteeka bamusabidde okweyimirirwa
Bannamatteeka b'omubaka wa Bunyole East Yusuf Mutembuli olwaleero batutte okusaba kwabwe mu kkooti enkulu ewozesa abalyake nga baagala omuntu waabwe yeeyimirirwe. Munnamatteekaawe Herbert Okidiya ategeezezza nga empapula zonna ezeetaagisa bwezitwaliddwa mu kkooti omuli n'abantu abalina okumweyimirira nga 4 ku bano babaka ba palamenti. Bano era bagenda kutuukirira omubaka omukyala ow'e Lwengo Cissy Namujju mu kkomera e Luzira kubanga naye ayagala kumusabira kweyimirirwa. Yusuf Mutembuli ne Cissy Namujju wamu n'omubaka wa Busiki Paul Kamba baakwatibwa omwezi guno ku bigambubwa nti beenyigira mu kusaba akulira akakiiko k'eddembe ly'obuntu enguzi basobole okumukolera ku bya bajeti y’elitongole ky’akulira