Omukazi eyatulugunya omwana akaligiddwa emyaka 40 mu nkomyo
Precious Tumuhirwe omukazi eyalabikira mu katambi ngatulugunya omwana ow’emyaka ena gyokka akaligiddwa emyaka 40 mu nkomyo oluvannyuma lwa kkooti okumusingisa omusango guno. Tumuhiirwe leero alabiseeko mu kkooti era nakkiriza omusango ogumuvunaanibwa.