Omukozi eyatulugunyizibwa yamazeeko emisomo oluvannyuma lw’okuyambibwa abazirakisa
Gyebuvuddeko NTV yalaga emboozi y'omwana ow'emyaka 16 eyali aliisibwa mukamaawe akakanja e Kira mu disitulikiti ye Wakiso. Oluvanyuma lw'okulaba emboozi eyo waliwo omuzira kisa owa Rotary eyavaayo okumuduukirira era namutwaala okuyiga eby'emikonoKati ono wetwogerera yakuguse mu byokusiba enviiri n'okuwunda abantu, mu kaseeera kano wandigamba nti yafuuse kitonde ekiggya.