Omukozi w’awaka natantalabikalabika yaakamala ku mulimu emyaka 28
Waliwo omukyala awangalidde mu mulimu gw’okukola awaka ogumanyiddwa nga obwa Yaaya kati okumala emyaka abiri mu munaana, ono agamba eky’okuba omukozi w’awaka takyejjusa anti gwemulimu gwokka gw’amanyi nga n’ebirungi agufunyemu ntoko.Kyokka ono agamba, empisa embi ezoolesebwa abamu ku bakozi b’ewaka ensangi zino zandiba nga zisibuka ku abasuulirira obuvunanyizibwa bwabwe mu nkuza y’abaana.