Omupiira gw’ebika: Ttiimu munaana zituuse ku kwota
Ttimu z'ebika munaana ze ziyiseewo okuttunka mu luzannya lwa quarter fayinolo ez’omupiira gw’ebika bya Baganda oluvannyuma lw’enzannya ez'ebibinja ezibade zitunkira ku kisaawe kya Lubiri ne Kawanda Secondary School. Ttimu ezimu ku ziyiseewo kuliko Endiga, ekkobe, ensenene, omutima omusagi wamu n’engabi ensamba.