Omuvubuka Joram Baguma eyagezaako okulumba Museveni asibiddwa myezi 15
Omuvubuka Joram Baguma eyalabwako nga agezaako okutuuka eri omukulembeze w’e ggwanga ku mpaka mu lukungana olwali ku kisaawe kye Mbogo e Kawempe kooti emukalize emyezi 15 nga ali mu nkomyo.
Baguma avunaaniddwa emisango esatu okuli ogw’okunyiiza omukulembeze we gwanga, okujemera amateeka kko okulumya omuserikale.
Omulamuzi agambye nti Baguma amuwadde ekibonerezo kisaaamusamu kubanga tagimalidde budde nga yegaana emisango gyino.