Omuvubuka yeekumyeko omuliro n’ateta ku palamenti
Poliisi ekyalemereddwa okuzuula ekyatanudde omuvubuka ategerekese nga Benjamin Agaba, okwekumako omuliro n'ateta kumpi ne wankaaki ayingira mu palamenti.Byetutegeddeko biraga nti omuvubuka ono aliko beyategezeezza nti ekimukosesezza kino ky'ekibiina kye ki NRM okumulekerera nga aliko ebizibu by'afunye so nga ate baali baamuwa essuubi.Agaba addusiddwa mu ddwaliro e Mulago ky'akyali mu kufunira obujjanjabi. Kuno kulabula, emboozi eno erimu ebifanaanyi ebitajja kulabika bulungi, kale ow'emmeeme entono ku mboozi eno tusaba osooke eriiso olitunuzeeko ebbali.