Omwana atemyeeko kitaawe omutwe e Bukomansimbi
E Bukomansimbi poliisi ekutte omuvubuka ow’emyaka 22 nga e mulanga ku kakkana ku kitaawe n’amutemako omutwe oluvanyuma lw’okukaayanira bodaboda.Omuvubuka akoze kino ye Rogers Lukyamuzi omutuuze ku kyalo Kitemi mu gombolola ye Bukango mu district ye bukomansimbi.Omuvubuka ono akidde kitaawe Remegio Kasibante n'amutemako omutwe , oluvanyuma lwokumunenyaako nga alwisizaayo bodaboda ye gyeyabadde amwazize okutambulirako.