Paapa Leo XIV asabye eklezia enyweze okukkiriza mu bakristu
Paapa omujja, Leo ow’ekkumi n’abana asabye eklezia okufuba okulaba ngabantu bongera okwenyweza okkukkiriza mu misa ye esookedde eddala okuva lw’eyalondeddwa olunaku lw’eggulo.Paapa alabudde ku bintu ebirala omuli tekinologiya, ssente, ebinyumo n’ebirala ebyongedde okuwugula emyoyo gyabakkiriza okuva ku Katonda kale nga eklezia esaanye okusitukiramu okukyusa embeera enoKu lutikko e Lubaga, nayo wabaddewo mmisa eyenjawulo ey’okuwonga Paapa omujja mu mikono gy’omukama amusobozesa okukulembera eklezia mu biseera bino ebizibu.Misa eno ekulembeddwa Ssaabasumba wa Kampala, Paul Ssemogerere