Poliisi ekutte abantu 12 ababbye ente 60 okuva e lyantonde
Waliwo abantu 12 abakwatiddwa Poliisi mu Kampala ngekolaganira wamu n’eye Lyantonde ku by’obubbi bwente ezisoba mu 60.Poliisi etubuulidde nti ente zino Zizze zibbibwa ku kyalo Kanyogoga mu gombolola ye Kinuuka mu disitulikiti ye Lyantonde, olwo nebazitunde ng’ennyamba mu bitundu bya Kampala. Ekkumi n’ababiri bano baakwatiddwa mu Bitundu bye Bulenga gye bazze batuusizza.