Poliisi eri mu kunoonyereza ku bazuuliddwa nga bafu mu nju
Poliisi e Iganga etandise okunoonyereza ku nfa ya Maama n’omwana abasangiddwa nga bafu mu kazigo akasangibwa ku kyalo kasolo mu ggombolola ye Bulamagi e Iganga . Namuyimbwa Shamira ow’emyaka 22 ne mutabani we Sulah Kabi be basangiddwa mu kitanda nga bafu bajjo oluvannyuma lw’ennaku bbiri ngakazigo kano kaggale. Ekivundu ekibadde kiva mu kazigo ababiri mwe babadde bawangaalira kye kitanudde baliraanwa okwekengera .