Poliisi yeeyamye okukuuma emirembe mu kalulu k’e Kawempe
Poliisi etubuulidde nti etandise okunoonyereza ku muserikale waaayo era aduumira poliisi y’e Wandegeya Hassan Hiwumbire ayekwatibwa ku katambi nga atujja omuwaguzi wa NUP ekikonde musosola ndaggu. Bino byaliwo nga ssatu omwezi guno ku kitebe ky’ekibiina e Kavule bannakiniina kino bwebaali batambula okwolekera ekisaawe ky’e Kawempe ku ttaano okunoonyeza omuntu waabwe Eliasa Nalukoola akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North. Ayogerera Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke atugambye nti nabo beewuunya ekyagya musajja waabwe mu mbeera okweyisa mu ngeri erabika nga emenya amateeka .Ono atubuulidde ne ku ngeri gyebeetegese okukuuma akaulu ke Kawempe nga 13th.