Ssente z’okweyimirirwa, kkooti erudde ddaaki n’esasula Habib Buwembo
Kkooti enkulu erudde ddaaki n'esasula Habib Buwembo obukadde bwa silingi busatu bw'abadde agibanja. Ensimbi zino, buwembo yaziwaayo ng’akakalu ka kkooti bwe yali yeyimirirwa mu musango ogwamuggulwako mu 2022 ng’avunaanwa okuyita sipiika wa palamenti omubbi w'amabaati g'e Karamoja.Oluvannyuma lw'ebbanga nga yewuuba ku kkooti eno ng’abakulu tebamufaako, ku Lwokuna oluwedde, Buwembo yasalawo okugumba ku kkooti eno okulaga obutali bumativu, era abakulu bapondoose ezize nebazimusasula.