Waliwo akubiddwa essasi erimusse ngawalampa ekikomera kya minista
Poliisi y’e Busia eri mu kunoonyereza ku musajja akubiddwa amasasi agamuggye mu budde ewa minisita w’ensonga z’amawanga agatuliraanye John Mulimba. Amasasi gano gakubiddwa mu kiro ekikeesezza leero ku ssawa nga mwenda ezekiro ku kyalo Bugunduhira mu ggombolola ye Dabani e Busia. Kigambibwa nti omusajja ono atannategeerekeka bimukwatako yabadde alinnye ekisenge ekyetoolodde amaka ga minisita ono.