Waliwo ayagala ebifo ebivuganyizibwako ebimu biggyebwewo
Gavumenti eweereddwa nsalessale wa nnaku 5 okwanukula ku kwemulugunya okuwakanya obukiise bw'ababaka abakyaala mu palamenti mu bibuba 10 n'ababaka ba municipaali 19 kubanga mu palamenti baliyo mu bukyaamu.Ekitongole ekirondoola enkozesa n’ensasanya y’ensimbi ki Alliance for finance Monitoring nga kiri wamu nekitongole ky’obwanakyewa ki Walezi Wa Katiba wamu nemunamateeka Magelah Peter Gwayaka bebaddukidde mu kkooti yamateeka nga bagala eragira ababaka bano okwamuka palamenti kubanga ebifo byabwe ssemateeka tebirambika.