ZUNGULU: Bannayuganda batandise okuvaayo okulaga nga bwe beegwanyiza okufuga eggwanga lino
Kaakati ebintu engeri gyebitambulamu, bannayuganda batandise okuvaayo okulaga nga bwe beegwanyiza okufuga eggwanga lino. Bano batuwadde ne ku Manifesto zaabwe tusomemu wabula ng'oluzungu mwe baziwandiika nga balutegeera bokka. Bwetubasabye bazisome ate gujabagidde. Tulinawo n'abaagenze mu lubiri okudduka, ate nebafuuka baana bato okwevulunga mu bitoomi. Bino byonna mu Zungulu.