Ab'e Mpigi bawanjagidde gav’t okuwagira enteekateeka z'okulaba nga abayizi bayitimuka mu kusoma
Bannabyabufuzi n'abalondoola eby’enjigiriza mu Mpigi, bawanjagidde gav’t okuwagira enteekateeka ez’enjawulo eziteekebwawo okulaba nga abayizi bayitimuka mu kusoma kwabwe. Bino byogeddwa oluvanyuma lw’abayizi ku mulundi guno okuyitira waggulu ebigezo byabwe bwogerageranya u bweguzze guba. Kino bakyesigamizza ku nteekateeka gyebaagunjawo mu disitulikiti eno okutuuza abaana ebigezo bya Mock ebyawamu.