Ab’eby’okwerinda baalambudde ekifo Nyegenyege wegenda okubeera
Ng'ebula Mbale okutuuka ku kivvulu Kya Nyegenyege okubaawo ab’eby’okwerinda olunaku lw’eggulo baalambudde ekifo kyona ekivvulu kino wekigenda okubeera. Bano nga bakulembedwamu akulira ebikwekweto mu ggwanga Frank Mwesigwa bakira abuuza abategesi ebibuuzo eby’enjawulo ku bintu engeri gye bigenda okwatibwamu.