Abakugu bagamba ekyokutondawo ekibiina ki PFF kya kunafuya enkyukakyuka
Abawangadde mu by’obufuzi balabudde nga okutondebwawo kw’ekibiina ekiggya ki People front for Change bwekutagenda kugatta maanyi mu lugendo lwa nkyukakyuka, okujjako ate okukonya ebituukiddwako.
Bagamba nti ekibiina kino kyatondeddwa mu buufu bwa kweyagaliza na kwefaako , kale nga okwekutulamu kwabadde tekwetaagisa.
Kyoka bagamba nti bino byonna ebyakoleddwa byakuyamba nnyo ekibiina ekiri mu buyinza okwongera okwenyweza.