Abakulembeze b'e Mbarara banoonya ba musiga nsimbi okubayambako ku kasasiro
Abantu abawangaalira e Kankobe e Mbarara basaba abakulembeze baabwe baddemu okufuna abantu abakola mu kasasiro ayiibwa mu kitundu kyabwe atandise okwetuuma sikulwa nga batuuka ku njega nga eyagwa e Kiteezi.
Ekifo kino kyekyateekebwawo ekibuga ky’e Mbarara okuyiwamu Kasasiro - wabula bagumya abatuuze okuba abakakkamu kuba baliko kampuni zeboogerezeganya zabo okuyamba ku mbeera eno.