Abakulembeze mu tawuni kanso ya Mpigi bakaayukide abazadde abakozesa abaana obutembeeyi
Abakulembeze mu tawuni kanso ya Mpigi bakaayukide abazade abagufude omugano okukozesa abaana nga batembeeya eby’okulya ku kkubo naddala mu budde bw’okumakya n’akawungezi.
Bagamba nti kino kiteeka obulamu bw’abaana mu katyabaga, era ekisaliddwawo, kwekugoba buli bwana alabwako nga atembeeya eby’okulya adde ewaka.