Abakulira zi SACCO e Wakiso bagenda kukwatibwa lwa kudibaga nsimbi za PDM
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ye Wakiso Justine Mbabazi aliko abakulembeze balaagidde bakwatibwe ng’abalanga kwetaba mu kubulankanya nsimbi za Parish Development Model.
Bono RDC abitegeeredde mu lukiiko lwa bonna olutegekeddwa e Namayumba abantu ne bamuloopera bassentebe baazi Sacco ebenyigidde mu kudibaga engaba ya ssente zino.
Kati RDC alagidde Poliisi okuwenja abakulembeze bano abamenyeddwa,kubanga kyebakola kutataganya ntekateeka ya gavumenti ey’okubajja mu bwavu.