Abasajja babiri bakwatiddwa lwa kutugumbula mwana n’oluvanyuma nebamusuula mu mugga
Poliisi e Masindi eriko abantu babiri b’ekutte ng’ebalanga kwenyigira mu kutugumbula mwana n’oluvanyuma ne bamusuula mu mugga. Ono eyabadde ow’emyaka 16, kigambibwa nti yasoose kusobezebwako ne bamutta nga n’ebitundu bye eby’omubiri ebimu byamukekejjulwako. Poliisi etutegeezezza ng’omu ku bano bweyakkirizza edda omusango nti omwana be baamutta.