Poliisi eri mukunoonya abatemu abatemyetemye omwana ow'emyaka 4 oluvannyuma lw'okumusobyako
Poliisi etandise okunoonyereza, abatemu abatemyetemye omwana ow’emyaka 4, nga kigambibwa basoose kumusobyoka. Omugenzi yabula ku lwakutaano bweyali ne munne bwebaali bazanya e Kirinya Bigo mu munisipaali y’e Nansana mu Wakiso. Omulambo gw’omwana ono gwasangiddwa mu nyumba etannagwa okumpi n’amaka g’abazadde be, nga guliko ekiwundu ku bulago.