Abakyala b'embuto e Namungoona bawereddwa obuyambi
Gav’t esabiddwa okuyama ku bakyala b’embuto n’ebikozesebwa mu kuzaala kubanga kizuuliddwa nga abakyala bangi basanga okusoomozebwa okutagambika nga batuuse mu biseera by’okuzaala.
Bino by’ogeddwa ku Ddwaliro e Namugoona li Holy Cross Hospital nga abakyala b’embuto baweebwa bujjanjabi obw’obwereere omubadde ne maama kit.
Eddwaliro lino lyatandikawo enteekateeka gyebatuuma Open Maternity day okuwa abakyala b’embuto naddala ab’omukitundu obujjanjabi obw’obwereere.