Abalimi b’ebikajjo basanyukidde ekiteeso ky'okuleeta etteeka ku bbeeyi y’ebikajjo ey’essalira
Abalimi b’ebikajjo basanyukidde enteeseganya ezigenda mumaaso mu Palamenti okuleeta etteeka ku bbeeyi y’ebikajjo ey’essalira erina okugulwa ku balimi. Kino kiddiridde abalimi b’ebikajjo bulijjo okwekubira enduulu olw’ebbeeyi eyadobonkana ebaviirako okufiirizibwa - kati abamu ku bakiikiridde abalimi bano nga bali wamu ne bannanyini byuma ebikola sukaali ababisuubula basisinkanye amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa okusalira ekizibu kino amagezi. Kisaliddwawo nti abalimu kati baakufuna ebitundu 55% okusinziira ku bbeeyi y’ebikajjo okwawukanako nga bwegubadde nga tewali bbeeyi yankalakkalira. Enkyukakyuka zino zaakutandika okukola oluvannyuma lw’emyaka ebiri, nga akakiiko n’etteeka eppya limaze okuyisibwa.