Abantu 13 basimattuse okufa motoka mwebabadde bali bweyalemeredde omugoba waayo n’eyingira oluwonko
Abantu ababadde bava okuziika, basimattuse okufa motoka ya Kamunye mwebabadde bali, bweyalemeredde omugoba waayo, n’eyingira oluwonko. Akabenje kano kagudde ku Round about ya Kkooti y’e Mpigi, bano bwebabadde bava mu bitundu by’e Butambala okuziikirako munaabwe kitaawe nga baddayo e Mukono. Poliisi ekakasizza nti tewali afudde nga abo ababadde mu mbeera embi bayongeddwayo e Mulago.