Abatuuze e Buyikwe beeralikirivu olw’endwadde ez'eyongedde okubagoya
Abatuuze mu disitulikiti y’e Buyikwe mu munisipaali y’e Njeru, beeralikirivu olw’endwadde ez'eyongedde okubagoya kyoka nga n’obujjanjabi bwa kekwa. Bino babyogeredde mulusiisira lw’eby’obulamu olutegekeddwa kampuni ensusuzi y’amasanyalaze eya Bujagaali Energy Limited, nga wano abasawo bategeezeza nti eky’okukola tebakyalina, olw’omujjuzo gwabalwadde gwebafuna, wabula nga tebalina kyakuzaako. Wano akulira eby’empuliziganya mu minisitule y’ebyamasanyalaze Patricia Letho, akubirizza abantu okuba abegendereza nga bakozesa amasanyalaze naddala nga ennaku enkulu zisembera okwewala obulabe naddala nga bakozesa abantu abatali bakugu.