Abatuuze e Kiryandongo bakedde kuva mu mbeera olw’ekubo lyabwe erimazze emyaka kumi nga terikolebwa
Abatuuze mu gombolola y’e Diima e Kiryandongo bakedde kuva mu mbeera olw’ekubo lyabwe erimazze emyaka kumi nga terikolebwa newankubadde bazze basuubizibwa. Bagamba buli lukya, oluguudo luno olwa Baradugu Ogengo Alero oluwerako kiro meter eziwerera ddala 10. Bagamba baguminkiriza ekisusse nabo kwekusalawo okuva mu mbeera.