Abatuuze e Masaka balumirizza abalamuzi okumala gasala emisango gyabwe
Abatuuze e Masaka balumirizza abalamuzi okumala gasala emisango gyabwe ekyongera obumenyi bw’amateeka mu kitundu kino.
Bano era bagamba nti abalamuzi basusse okuba abakambwe ekibaviirako n’okulemwa okuwayo obujjulizi bwabwe nga baagala babagambeko.
Okwogera bino ekitongole ekiramuzi nga kikulembeddwamu akulira abalamuzi ba kkooti enkuli Flavian Zeija basisinkanye abatuuze okuva mu disitulikiti 10 ezikola ettundutundu lya Masaka.