Akulira eby'okulonda e Mpigi alabudde abaagala okwesimbawo
Akakiiko k'eby’okulonda mu disitulikiti y'e Mpigi kalabudde abantu abegwanyisa ebifo ebitali bimu abatandise okutimba ebipande okukikomya kubanga kimenya amateeka.
Akulira eby’okulonda e Mpigi Honest Baguma okulabula kuno akukoledde mu lutuula lwa kanso y’e Mpigi bwabadde abuulira ba kansala enteekateeka y’akakiiko k’eby’okulonda kwabonna okwa 2026.
Oluvannyuma kanso tesobodde kugenda mu maaso oluvanyuma lwa bakansala obutalabikako nga ababaddewo babadde tebasobozesa kanso kugenda mu maaso mu mateeka.