Amyuka kaliisoliiso wa Gav't alambudde Kyabakuza Health Centre
Amyuka kalisoloso wa gav’t, Patricia Okiria alaze obwenyamivu olw’omulimu ogwakolebwa obubi mu kuzimba ebizimbe by’edwaliro lya Kyabakuza Health centre II - ono agamba n’ensimbi ezaasabibwa obukadde 173 ezakozesebwa okuzimba enyumba z’abasawo nazo mpitirivu bwogerageranya ekizimbe kyebaazimba.
Kino kyadirira abakulembeze e Masaka okwemulugunya ku nsimbi empitirivu ezaakozesebwa okuzimba ekizimbe kino zebagamba nti zaali mpitirivu.