Ba MP abasawo batadde gav't ku nninga obutabalaatira mu nsonga za Amerika kukomya obuyambi eri USAID
Ababaka ba palamenti abasawo, batadde gavumenti ku nninga obutabalaatira mu nsonga za ggwanga lya Amerika okukomya obuyambi obuva mu kitongole ky’alyo eky’eby’obulamu ki USAID eri Uganda. Bano bagamba eggwanga lyandigwa mu katyabaga nga baagala pulezidenti Museveni oba minisita w’eby’obulamu okusisinkana abakulu ku embassy ya Amerika, babeereko enteeseganya ku nsonga y’eby’obulamu bwabannayuganda obubadde buvvujirirwa ekitongole kino. Webutuukidde olwaleero nga abantu emitwalo 32, ababadde bakola n’ekitongole ki USAID, tebakyalina mirimu era bonna basabiddwa okuzzaayo ebikola eri ekitebe kyabwe ekikulu.