Bana FDC ab'ekiwayi ky'e Katonga batandisewo ekibiina ekiggya
Enkya ya leero bannakibiina ki Forum for Democratic Change [FDC] abakakkalabiza egyabwe ku luguudo lwa Katonga batandise kaweefube w’okuwandiisa ekibiina ekiggya kye batuumye Peoples Front For Freedom. Bano olwaleero babade ku kakiiko k’eby’okulonda nga beekwata erinnya lino, bwerikakasibwa batandike ku kaweefube w’okutalaaga eggwanga nga banoonya amannya g’abakisemba. Bbo bannaabwe ab’e Najjanankumbi basiimye ekikoleddwa bannaabwe nga bagamba nti kyakumalawo okusika omuguwa wakati waabwe nga balwanira ekibiina.