Bannakyewa basabye gav’t okubaga etteeka erikugira abantu okumala gakozesa Acid
Bannakyewa basabye gav’t okubaga etteeka erikugira abantu okumala gakozesa Acid nga eky’okulwanyisa eri abalala. Bano bagamba abantu bangi obulamu bwabwe bwonooneddwa olw’okuyiirwa Acid n’okwokebwa mu ngeri endala nga n’abamu batuuka n’okufiirwa obulamu bwabwe kyokka nga tewali tteeka abakola kino mwebavunaanibwa. N’abasajja bakubiriziddwa okwewala okusirikira okunyigirizibwa kwebayitamu mu maka gaabwe okwewala ebiyinza okuddirira. Bino bituukiddwako mu kutongoza ennaku 16 ez’okulwanyisa obutabanguko mu maka.